Psalms 36:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Katonda, ekisa kyo nga kya muwendo! Abaana b'abantu baddukira mu kittuluze ky'ebiwaawatiro byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta; obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Banakkusibwa emmere ennyingi gy'obawa mu nnyumba yo. Obaleka ne banywa amazzi ku mugga ogw'essanyu lyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakkusibwa emmere ennyingi gy'obawa mu nnyumba yo. Obaleka ne banywa amazzi ku mugga gwo ogwesiimisa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Banakkusibwanga ddala obugevvu obw'ennyumba yo. Era onoobanywesanga ku mugga ogw'essanyu lyo.