Psalms 37:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama amanyi ebbanga abataliiko musango lye bamala; obusika bwabwe bulibeerawo emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama, era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama amanyi ennaku z'abo abatalina musango, N'obusika bwabwe bunaabeeranga bwa mirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alabirira abatalina musango, era ensi eriba yaabwe ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama amanyi ennaku z'abo abatuukiridde: N'obusika bwabwe bunaabeeranga bwa mirembe gyonna.