Psalms 37:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga bakala mangu ng'omuddo, baggwaawo mangu ng'ebikoola by'ebimera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo, bafiire ddala ng’essubi ekkalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga baliggwaawo mangu ng'essubi, Baliwotoka ng'omuddo ogumera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga balifa mangu ng'omuddo ogukala, balibulawo ng'ebimera ebiwotoka ne bifa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga balisalwa mangu ng'essubi, Baliwotoka ng'omuddo ogumera.