Psalms 37:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nali muvubuka, kati nkaddiye, naye sirabanga mutuukirivu ng'ayabuliddwa, yadde ezzadde lye nga lisabiriza omugaati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnali muto kati nkaddiye, naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo, wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nali muto, kaakano nkaddiye, Naye sirabanga mutuukirivu Mukama gwayabulira, Wadde abaana be nga basabiriza emmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano nkuze era nkaddiye, naye sirabanga muntu mulungi Mukama gw'ayabulira, wadde abaana be nga basabiriza ebyokulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nali muto, kaakano nkaddiye; Naye, sirabanga mutuukirivu ng'alekeddwa, Newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere.