Psalms 37:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bulijjo wa kisa era awolerawo, era ezzadde lye lirifuna omukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe n’essanyu. Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bulijjo akola eby'ekisa, n'awola abalala, N'abaana be babeera ba mukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bulijjo omulungi akola eby'ekisa, awola abalala, n'abaana be bamwesiimisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obudde okuziba akola eby'ekisa, n'awola; N'ezzadde lye liweebwa omukisa.