Psalms 37:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama ayagala obutuukirivu, talekerera batuukirivu be. Balitaasibwa emirembe gyonna, Abatali batuukirivu balizikirira emirembe gyonna naye ezzadde ly'ababi lirikutulwako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama ayagala ab’amazima, n’abeesigwa be taabaabulirenga. Banaalabirirwanga emirembe gyonna; naye ezzadde ly’ababi lirizikirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama ayagala ebituufu, Era tayabulira abo abamwesiga. Abakuuma emirembe gyonna. Naye ezzadde ery'omubi lirizikirizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ayagala ebituufu, era tayabulira bamwesiga. Abakuuma emirembe gyonna. Naye ezzadde ly'omubi, lirizikirizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama ayagala ensonga, Era taleka batukuvu be; Bakuumibwa emirembe gyonna: Naye ezzadde ery'omubi lirizikirizibwa.