Psalms 37:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nalaba omuntu omubi, omukambwe, ng'aginnyimuka ng'entolookyo ya Lebanoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli ky’akola kimugendera bulungi, ng’agimuse ng’omuti ogukulidde mu ttaka eggimu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnalaba omubi ng'alina obuyinza obungi, Era ng'agulumidde ng'omuti omuwanvu ogumeze ku ttaka eggimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nalaba omubi eyeekulumbaza era anyooma buli omu, ng'agulumidde ng'omuti omuwanvu ogumeze mu ttaka eggimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nalaba omubi ng'alina obuyinza obungi, Era ng'agulumidde ng'omuti ogumeze ku ttaka lyagwo.