Psalms 37:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nayitawo, nga takyaliwo; namumagamaga, naye nga takyazuuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye teyalwawo n’abula, ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwenakomawo, laba nga takyaliwo. Namunoonya, naye ssaamulaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe nakomawo, yali takyaliwo. Namunoonya, naye saamulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe baayita, laba, taliiwo: Era namunoonya, naye teyalabika.