Psalms 37:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sirikira mu Mukama, era suubira mu ye; tosuukiira olw'oyo amakubo ge gwe galamidde, omuntu oyo ayiiya okukola obubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Siriikirira awali Mukama, ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola. Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sirika eri Mukama, omulindirirenga n'okugumiikiriza. Teweeraliikiriranga abo abatuukiriza okukola ebibi, Na buli kye bakola nga kibagendera bulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sirika ogumiikirizenga mu maaso ga Mukama, olindirirenga ye ky'anaakola. Teweeraliikiriranga abo abatuukiriza ebibi bye bateesa okukola, buli kye bakola ne kibagendera bulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sirika eri Mukama, omulindirirenga n'okugumiikiriza: Teweeraliikiriranga lw'oyo alaba ebirungi mu kkubo lye, Olw'omuntu atuukiriza enkwe ez'obubi.