Psalms 38:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mikwano gyange ne bannange banneewala olw'ebiwundu byange; baliraanwa bange bayimiridde wala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaagala okunzita bantega emitego, n’abo abangigganya bateesa okummalawo. Buli bbanga baba bateesa kunkola kabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaagala okunzita bantega emitego, N'abo abanjagaliza obubi banjogerera eby'ettima. Buli kiseera bansalira enkwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaagala okunzita bantega emitego, abanjagaliza obubi banjogerera eby'obukambwe. Buli kiseera bansalira enkwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'abo abanjigganya obulamu bwange banteega; N'abo abaagala nze okulaba akabi boogera eby'ettima, Era balowooza eby'obulimba obudde okuziba.