Psalms 38:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti, ayi Mukama, ggwe nnindirira, ononnyanukula, ayi Mukama, Katonda wange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tobakkiriza kunneeyagalirako, oba okunneegulumirizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkusaba nti toleka balabe bange kusanyuka olw'obuyinike bwange. Tobaganya kunneewaanirako nga ngudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkusaba nti toleka balabe bange kusanyuka olw'obuyinike bwange. Tobakkiriza kunneewaanirako nga ngudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nayogera nti Baleme okunsanyukirako: Ekigere kyange bwe kiseerera, banneegulumirizaako.