Psalms 38:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti ŋŋamba nti: “Baleme kunneekulisizaako; ng'ebigere byange biseeredde, baleme kunneewaanirako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga nsemberedde okugwa, era nga nnumwa buli kiseera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndi kumpi okugwa, Ndi mubulumi obutasalako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndi kumpi okugwa, ndi mu bulumi obutasalako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nze ndi kumpi n'okuwenyera, N'ennaku zange ziri mu maaso gange bulijjo.