Psalms 38:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kwatula omusango gwange, ekibi kyange kinneeraliikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalabe bange bangi era ba maanyi; n’abo abankyayira obwereere bangi nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalabe bange balamu, ba maanyi. N'abo abankyayira obwereere bangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalabe bange balamu, ba maanyi. N'abankyayira obwemage bangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abalabe bange balamu, balina amaanyi: N'abo abankyawa olw'obulimba beeyongedde.