Psalms 39:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzigyako ekibonerezo kyo; obukambwe bw'omukono gwo bummaze amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola, omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye. Ddala omuntu mukka bukka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'obonereza omuntu olw'okwonoona kwe, Omumaliramu ddala obulungi bwe, nebuba nga obuliriddwa ennyenje. Mazima, buli muntu mukka bukka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'obonereza omuntu ng'omunenya olw'ebibi bye, ozikiriza by'ayagala, ne biba ng'ebiriiriddwa ennyenje. Ddala buli muntu mukka bukka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'obuuliriranga omuntu n'okunenya olw'obutali butuukirivu, Omumaliramu ddala obulungi bwe, ng'ennyenje: Mazima, buli muntu mukka. (Seera)