Psalms 39:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu omukomako olw'ensobi ze n'omubonereza, obugagga bwe obumalawo ng'ennyenje. Mazima buli muntu mukka bukka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, wulira okusaba kwange, owulire okukaaba kwange onnyambe. Tonsiriikirira nga nkukaabirira. Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze, nga bajjajjange bonna bwe baali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama, owulire okukaaba kwange. Olw'okukaaba kwange, nnyamba. Kubanga nze ndi mugenyi gy'oli, Omutambuze, nga bajjajjange bonna bwe baali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wulira kye nsaba, ayi Mukama, owulirize bwe nkaaba. Olw'amaziga ge njiwa, nnyamba! Ndi mugenyi wo, omuyise era omutambuze, ŋŋenda nga bajjajjange bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wulira okusaba kwange, ai Mukama, okkirize okukaaba kwange; Tosirikira maziga gange: Kubanga nze ndi mugenyi gy'oli, Omutambuze, nga bajjajja bange bonna bwe baali.