Psalms 39:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, wulira essaala yange; wuliriza okuwanjaga kwange, n'amaziga gange togazibira matu; anti ewuwo ndiyo ng'omugwira, omusenze nga bajjajjange bonna bwe baali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndeka nsanyukemu, nga sinnava mu nsi muno, ne mbulirawo ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onsaasire, ndyoke nziremu amaanyi, Nga sinnava muno ne ssibeerawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndeka nsanyukemu akatono, nga sinnagenda butadda ku nsi kuno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onsaasire, ndyoke nziremu amaanyi, Nga sinnava muno ne ssibeerawo.