Psalms 39:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nagamba nti: “Nzija kukuuma amakubo gange olulimi lwange ndutangire ekibi; akamwa kange nzija kukassaako ekkufulu ebbanga lyonna omubi ng'ali awo mu maaso gange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe nasirika ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi, ate obuyinike bwange ne bweyongera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnasiruwala ne nsirika n'ebirungi saabyogera; Okunakuwala kwange ne kweyongera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nasiruwala ne nsirika n'ebirungi saabyogera; naye neeyongera kunakuwala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nasiruwala obutayogera, nasirika, newakubadde ebirungi saabyogera; Okunakuwala kwange ne kweyongera.