Psalms 39:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabunirira ddala ne nsirika, saayogera, naye saaganyulwa kantu, wabula ennaku yange yeeyongera kubijja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange. Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange; kyenava njogera nti:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne nneeraliikirira, Bwe nnalowoozanga, nga nnyongera kweraliikirira. Ne ndyoka ŋŋamba nti:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne neeraliikirira. Bwe nalowoozanga, nga nnyongera kweraliikirira. Kyennava ŋŋamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gwange ne gwaka munda yange; Bwe nnali ndowooza, omuliro ne gukoleera: Ne ndyoka njogera n'olulimi lwange: