Psalms 39:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gwange ne gunjakirira munda, bwe nalowoozanga, omuliro ne gutumbuka, ne ndeka olulimi lwange ne lwogera nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba, n’ennaku ze nsigazza; ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukama, ontegeeze enkomerero yange, N'ebbanga lye ndiwangaala. Ntegeere bwe ndi omumenyefu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama, ntegeeza lwe ndifa, n'ebbanga lye ndiwangaala. Mmanyisa ng'obulamu bwange bwe buyita amangu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama, ontegeeze enkomerero yange, N'ekigera eky'ennaku zange bwe kiri; Ntegeere bwe ndi omumenyefu.