Psalms 39:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ayi Mukama, mmanyisa enkomerero yange, n'ekipimo ky'ennaku zange, ntegeere nga bwendi omuyabayaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta. Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu. Buli muntu, mukka bukka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ennaku zange wazigerera ku luta. N'obulamu bwange buli nga si kintu gy'oli: Mazima, buli muntu, n'ebwawangaala, mukka bukka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obulamu bwange wabugerera ku luta. Akaseera ke ndiwangaala, tekalina bwe kenkana mu maaso go. Ddala buli muntu mukka bukka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ennaku zange wazikola ng'enta; N'obulamu bwange buli nga si kintu gy'oli: Mazima, buli muntu, bw'anywerera ddala, mukka bukka. (Seera)