Psalms 39:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuuno ennaku zange wazigerera ku luta, ebbanga ly'obulamu bwange temuli kantu mu maaso go, mazima buli muntu mukka bukka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize. Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu. Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima buli muntu atambulira mu kifaananyi ekitaliimu. Mazima, beeraliikiririra bwereere: Akuuma obugagga, so tamanya agenda okubutwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ayita buyisi ng'ekisiikirize! Byonna by'akola bimufa bwereere. Obugagga bw'akuŋŋaanya, tamanya aliba nnyinibwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima buli muntu atambula mu kifaananyi ekitaliimu. Mazima, beeraliikiririra bwereere: Akuuma obugagga, so tamanya agenda okubutwala.