Psalms 4:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nkoowoola gy'oli, mpulira, ayi Katonda w'obutuukirivu bwange; mpa ntoowolokokeko mu nnaku zange; nsaasira, owulire essaala yange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange? Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe abantu, mulituusa wa okumpeebuula? Mulituusa wa okwagala ebitaliimu, n'okugoberera eby'obulimba?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe abantu mulituusa wa okumpeebuula? Mulituusa wa okwagala ebitaliimu, n'okukolera ku by'obulimba?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe abaana b'abantu, mulituusa wa okukyuusa ekitiibwa kyange mu nsonyi? Mulituusa wa okwagala ebitaliimu, n'okugoberera eby'obulimba? (Seera)