Psalms 4:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bantu mmwe, munaatuusa wa okuswaza ekitiibwa kyange? Munaatuusa wa okwagala ebitaliimu n'okunoonya obulimba?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera. Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mutegeere nga Mukama yeeyawuliddeko abamutya okuba ababe. Mukama ampulira bwe mukoowoola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumanye nti Mukama abamwagala abalonze okuba ababe. Mukama bwe mmukoowoola, ampulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mutegeere nga Mukama yeeterekedde atya Katonda: Mukama anaawuliranga bwe nnaamukoowoolanga.