Psalms 40:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nalangirira obutuukirivu bwo mu lukuŋŋaana olukulu; emimwa gyange sigitangira, ayi Mukama, nga bw'okimanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange, naye ntegeeza ku bwesigwa bwo n’obulokozi bwo. Abantu nga bakuŋŋaanye, sirema kubategeeza ku mazima go n’okwagala kwo okungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sikwekanga bulokozi bwo ne siibwogerako. Mbuulidde obwesige bwo n'amazima go. Ekisa kyo n'amazima go sibikisanga ekibiina ekinene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye namanya nti otulokodde nakyogera, saasirika abantu bo we bakuŋŋaanidde. Obwesigwa bwo n'obuyambi bwo, ekisa kyo n'amazima go, ssaabikisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sikwekanga butuukirivu bwo mu mutima gwange munda; Mbuulidde obwesige bwo n'obulokozi bwo: Ekisa kyo n'amazima go sibikisanga ekibiina ekinene.