Psalms 40:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obutuukirivu bwo sibukisa mu mutima gwange; njogera ku bwesigwa bwo n'okulokola kwo. Olukuŋŋaana olunene sirukweka kisa kyo na mazima go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama, amazima n’okwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe, Ayi Mukama, tolekaayo kunsaasira. Ekisa kyo n'amazima go binkuumenga ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tolekaayo kunsaasira, ayi Mukama. Ekisa kyo n'amazima go binkuumenga bulijjo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe, ai Mukama, tonnyima kusaasira kwo okulungi: Ekisa kyo n'amazima go binkuumenga ennaku zonna.