Psalms 40:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bajaguze, bakusanyukiremu abo bonna abakunoonya; bagambe bulijjo nti: “Omukama agulumizibwe,” bonna abo abeegomba obulokofu bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo. Mukama ondowoozeeko. Tolwawo, Ayi Katonda wange. Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze ndi mwavu, ndi mu bwetaavu, Naye Mukama andowoozaako. Ggwe mubeezi wange era omulokozi wange. Tolwawo, Ayi Katonda wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze ndi mwavu, ndi mu bwetaavu, naye Mukama andowoozaako. Ggwe onnyamba era ggwe omponya. Ayi Katonda wange, tolwa!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze ndi mwavu, neetaaga; Mukama andowooza: Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange; Tolwawo, ai Katonda wange.