Psalms 40:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nalinda ne nnindirira Omukama; yakyukira gye ndi n'awulira okuwanjaga kwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’anziggya mu kinnya eky’entiisa, n’annyinyulula mu bitosi, n’anteeka ku lwazi olugumu kwe nyimiridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yanzigya mu bunnya obw'okuzikirira, ne mu bitositosi, N'ateeka ebigere byange ku lwazi, n'annyweza nga ntambula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yanzigya mu bunnya obuntiisa, ne mu bitosi mwe ntubira, n'anteeka ku lwazi kwe mponera, n'annyweza ebigere we nninnye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'anziya mu bunnya obw'okuzikirira, mu bitositosi; N'ateeka ebigere byange ku lwazi, n'anyweza okugenda kwange.