Psalms 40:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yassa oluyimba oluggya mu kamwa kange, ettendo ku Katonda waffe. Bangi baliraba ne batya ne bassa obwesige mu Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balina omukisa abo abeesiga Mukama, abatagoberera ba malala abasinza bakatonda ab’obulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wa mukisa omuntu eyeesiga Mukama, Atassamu ba malala kitiibwa wadde abo abasinza ebitali Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wa mukisa eyeesiga Mukama, era ateesigula bakola bya malala, wadde abasinza ebitajja nsa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Aweereddwa omukisa omuntu eyeesiga Mukama, N'atabassaamu ekitiibwa ab'amalala newakubadde abakyamira mu bulimba.