Psalms 40:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bingi, ayi Mukama, Katonda wange, ebyewuunyisa bye wakola; by'otutegekera nga bya kitalo; tewali akufaanana! Singa njagala kubyogera na kubinyumyako, byandibadde bingi okubittottola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala. Ebiweebwayo ebyokebwa olw’okutangirira ebibi, tobyetaaga. Naye onzigudde amatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ssaddaaka n'ebiweebwayo si by'oyagala. Ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'ebibi, tobyetaaga. Wabula wampa amatu mpulire.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebitambiro n'ebiweebwayo si by'oyagala. Ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'ebibi, tobyetaaga. Wabula wampa amatu mpulire.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ssaddaaka n'ebiweebwayo tobisanyukira; Amatu gange ogawulizza: Ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'ebibi tewabyagala.