Psalms 40:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
neegomba okukola ky'oyagala, ayi Katonda wange; etteeka lyo liri munda mu mutima gwange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene. Sisirika busirisi, nga naawe bw’omanyi, Ayi Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mbuulidde obulokozi bwo mu kibiina ekinene. Ayi Mukama, ggwe omanyi, Siirekangayo kukyogerako ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'abantu bo bakuŋŋaanye nayatula nga bw'otulokodde. Ayi Mukama, omanyi nga siirekengayo kukyogera ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mbuulidde obutuukirivu mu kibiina ekinene; Laba, ssiibunizenga mimwa gyange, Ai Mukama, ggwe omanyi.