Psalms 41:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeesiimye ategeera omunaku, Omukama alimuwonya ku lunaku olw'akabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe, era anaamuwanga omukisa mu nsi; n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama anaamukuumanga, anaamuwonyanga, era anaaweebwanga omukisa mu nsi. Taweebwengayo eri abalabe be okumukola bye baagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama amukuuma n'amuwa obulamu, amuwa omukisa mu nsi, tamuwaayo kufugibwa balabe be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama anaamukuumanga, anaamuwonyanga, era anaaweebwanga omukisa mu nsi; So tomuwangayo eri abalabe be okumukola bye baagala.