Psalms 41:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alimuwanirira ng'ali ku ndiri; alimuwonya byonna ebimuluma mu bulwadde bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti, “Ayi Mukama, onsaasire, Omponye, kubanga nnyonoonye ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze nagamba nti: “Ayi Mukama, nnyonoonye, nkunyiizizza, mponya lwa kisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nayogera nti Ai Mukama, onsaasire: Omponye emmeeme yange: kubanga nnyonoonye ggwe.