Psalms 41:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalabe bange banjogerako bubi nti: “Alifa ddi, n'erinnya lye ne lizikirira?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe bajja okundaba beefuula mikwano gyange; naye munda yaabwe bankyawa era basanyuka okulaba nga ngalamidde awo nnumwa. Bwe bansiibula bagenda beesekera nga bwe baduula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abajja okundaba, boogera ebitaliimu. Banoonya ebibi eby'okunjogerako, Bwe bava wendi, nebabyogera buli wantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abajja okundaba boogera bitajja nsa. Banoonya bya ŋŋambo. Bwe bagenda, ze balaalaasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne bw'ajja okundaba, ayogera ebitaliimu; Omutima gwe gwekuŋŋaanyiza obutali butuukirivu: Bw'ava mu nnyumba, abubuulira.