Psalms 42:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amagumba gange gameketa okufa, abalabe bange bwe bankijjanya, nga banteeteza olunaku lwonna nti: “Katonda wo aluwa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse mu nda yange? Weesigenga Katonda, kubanga nnaamutenderezanga, Omulokozi wange era ye Katonda wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiki ekikunyikaziza gwe, emmeeme yange? Era kiki ekikweraliikiriza? Suubira mu Katonda; kubanga ndiddamu ne mutendereza, omuyambi wange era Katonda wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale lwaki ennaku ennuma omwoyo, era lwaki neeraliikirira? Ka neesige Katonda, kubanga ndiddamu okumutendereza, Katonda Omulokozi wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza, Bwe bulamu obw'amaaso gange, era Katonda wange.