Psalms 42:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gwange ennyonta ya Katonda eguluma, Katonda omulamu. Nnaagenda ddi ne ndaba amaaso ga Katonda?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkaabirira Mukama emisana n’ekiro. Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro, abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaziga gange ye mmere yange emisana n'ekiro, So nga abantu baŋŋamba obudde okuziba nti, “Katonda wo ali luda wa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emisana n'ekiro amaziga ye mmere yange. Buli budde nga bwe baŋŋamba nti: “Katonda wo ali ludda wa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amaziga gange ye mmere yange emisana n'ekiro, Bwe baŋŋamba obudde okuziba nti Katonda wo ali luda wa?