Psalms 42:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaziga gange ngalya bumere emisana n'ekiro, nga banteeteza olunaku lwonna nti: “Katonda wo aluwa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene, ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu, nga tugenda mu nnyumba ya Katonda, nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bino mbijjukira, ne nzijjayo ebiri mu mmeeme yange, Engeri gye nnagenda n'ekibiina ky'abantu, ne mbakulemberamu okugenda mu nnyumba ya Katonda, N'eddoboozi ery'essanyu n'ery'okutendereza, ekibiina ekyegendereza ekyekuuma ebijjaguzo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe njijukira eby'edda, nennyamira! Nagendanga n'ekibiina ky'abantu, ne nkulemberamu nga tutambula okulaga mu nnyumba ya Katonda ng'essanyu litujjudde, tuyimba tusaakaanya ennyimba ezimutendereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bino mbijjukira, ne nfuuka emmeeme yange munda yange, Bwe nnagenda n'ekibiina, ne mbatwala mu nnyumba ya Katonda, N'eddoboozi ery'essanyu n'ery'okutendereza, ekibiina ekyegendereza olunaku.