Psalms 42:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino nkijjukira lwe njogera buli kindi ku mutima: Nasimbanga ennyiriri wamu n'ekibiina ne nkulemberamu okugenda mu nnyumba ya Katonda, mu maloboozi ag'okujaguza n'okutenda, ebbiina nga lijaguza, likuza embaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse mu nda yange? Essuubi lyo liteeke mu Katonda, kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange; ye mubeezi wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiki ekikunyikaziza gwe, emmeeme yange? Era kiki ekikweraliikiriza? Suubira mu Katonda; kubanga ndiddamu ne mutendereza, omuyambi wange,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano, lwaki ennaku ennuma omwoyo, era lwaki neeraliikirira? Ka neesige Katonda, kubanga ndiddamu ne mmutendereza, Katonda Omulokozi wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza Olw'obulamu obw'amaaso ge.