Psalms 42:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwoyo gwange, lwaki wennyise? Lwaki opakuka munda yange? Suubira mu Katonda, kubanga naddamu okumugulumiza; obulokofu bwange,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise, yeeraliikiridde; naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni ne ku Lusozi Mizali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era Katonda wange. Ayi Katonda wange, emmeeme yange yeenyika munda mu nze, Bw'entyo nkulowoozaako nga ndi mu nsi ya Yoludaani, Era ne ku nsozi za Kerumooni, ne ku kasozi Mizali,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda wange, ennaku ennuma omwoyo! Kyenva nkulowoozaako nga ndi mu nsi ya Yorudaani ne ku nsozi z'e Herumooni ne ku kasozi Mizari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Katonda wange, emmeeme yange ekutamye munda yange: Kyenva nkujjuukirira mu nsi ya Yoludaani, Ne ku nsozi Kerumooni, ne ku kasozi Mizali,