Psalms 42:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda wange. Omwoyo gwange gunnennyise muli munda; kyenva nkujjukira okuva mu nsi ya Yorudani, n'ensi za Kerumoni, n'okuva ku lusozi Mizari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obuziba bukoowoola obuziba, olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro amayengo n’amasingisira go bimpiseeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obuziba bukoowoola obuziba, olw'okubwatuuka kw'ebiyiriro byo; Amayengo go gonna n'amasingiisira go bimpiseeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebiyiriro by'amazzi biyita binnaabyo, amazzi go ageefuukuula bwe gayira. Engezi yo yonna n'amayengo biyise ku nze!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obuziba bukoowoola obuziba amazzi go ageefuukuula bwe gayira: Amayengo go gonna n'amasingiisira go gampiseeko.