Psalms 42:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eddubi liyita eddubi mu kuyira kw'ebiyiriro byo; amayengo n'amasingiisira ganjiikira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro ne muyimbira oluyimba lwe; y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama anaalaganga ekisa kye emisana, N'ekiro oluyimba lwe lunaabeeranga nange, essaala eri Katonda ow'obulamu bwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alaga ekisa kye emisana, ekiro ndyoke mbe n'oluyimba lwe nnyimba, nga nsaba Katonda akuuma obulamu bwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama anaalagiranga ekisa kyo emisana, N'ekiro oluyimba lwe lunaabeeranga nange. Kwe kusaba Katonda ow'obulamu bwange.