Psalms 43:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe Katonda, ekigo kyange. Lwaki wansambajja? Lwaki ŋŋenda ndaagana, ng'omulabe annyigiriza?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi. Lwaki ondese? Lwaki ŋŋenda nkaaba nga nnyigirizibwa omulabe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ggwe oli Katonda mwe nneekweka; kiki ekikunsuuzizza ewala? Lwaki ngenda nga nkaaba olw'okunyigirizibwa kw'abalabe bange?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe onkuuma. Lwaki onjabulidde? Lwaki abalabe bange bambonyaabonya?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ggwe oli Katonda wa maanyi gange; kiki ekikunsuuzizza ewala? Lwaki nze okugenda nga nkaaba olw'okujooga kw'omulabe?