Psalms 43:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwoyo gwange, lwaki wennyise? Lwaki opakuka munda yange? Suubira mu Katonda, kubanga naddamu okumugulumiza; oyo obulokofu bwange, Katonda wange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse munda yange? Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga, Omulokozi wange era Katonda wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiki ekikunyikaziza gwe, emmeeme yange? Era kiki ekikweraliikiriza? Suubira mu Katonda; kubanga ndiddamu ne mutendereza, omuyambi wange era Katonda wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale lwaki ennaku ennuma omwoyo, era lwaki neeraliikirira? Ka nneesige Katonda kubanga ndiddamu ne mmutendereza, Katonda Omulokozi wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza, Bwe bulamu obw'amaaso gange; era Katonda wange.