Psalms 44:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eri omuyimbisa. Lwa batabani ba Kora. Masukili.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe, bajjajjaffe baatubuulira, ebyo bye wakola mu biro byabwe, mu nnaku ez’edda ezaayita.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Twawuliranga n'amatu gaffe, Ayi Katonda, bajjajja baffe baatubuuliranga, Eby'amagero bye wakolanga mu nnaku zaabwe, mu nnaku ez'edda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, bajjajjaffe baatunyumiza ne twewulirira n'agaffe ebyewuunyo bye wakola edda mu biro byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Twawuliranga n'amatu gaffe; ai Katonda, bajjajja baffe baatubuuliranga, Emirimu gye wakolanga mu nnaku zaabwe, mu nnaku ez'edda.