Psalms 44:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Otufudde mboozi mu b'amawanga; abantu batunyeenyeza mitwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nswazibwa obudde okuziba, amaaso gange ne gajjula ensonyi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obudde okuziba okunyoomebwa kunjolekedde, Nzenna ensonyi zinsaanikidde,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obudde buziba nga nnyoomebwa, nzenna nzijudde kuswala
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obudde okuziba okunyoomebwa kwange kunjolekedde, N'ensonyi ez'amaaso gange zinsaanikidde,