Psalms 44:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensonyi zange zindi awo mu maaso bulijjo, amaaso gange gabikkiddwa obuswavu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
olw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu, olw’omulabe amaliridde okuwoolera eggwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'eddoboozi ly'oyo aboggola, era avuma; N'okulaba kw'omulabe n'oyo awooleera eggwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga mpulira ababoggola era abavuma, n'abalabe abawoolera eggwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'eddoboozi ly'oyo aboggola, avuma; Olw'omulabe n'olw'oyo awalana eggwanga.