Psalms 44:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Katonda, twawulira n'amatu gaffe; bajjajja baatunyumiza bye wakola mu budde bwabwe, mu nnaku ez'edda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe wagoba amawanga mu nsi n’ogiwa bajjajjaffe, wasaanyaawo amawanga n’okulaakulanya bajjajjaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omukono gwo wagobamu amawanga, n'oteekamu bajjajjaffe; Wabonyaabonya amawanga, naye ababo n'obawa eddembe ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wagoba mu nsi ab'amawanga amalala, owe bano we banaabeeranga. Wabonyaabonya abantu bali, bano n'obawa nnyo eddembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amawanga wagagobamu n'omukono gwo, n'obasigamu bo; Wabonyaabonya amawanga, n'ogasaasaanyiza ddala.