Psalms 44:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga twali twerabidde erinnya lya Katonda waffe, oba ne tusitulira emikono gyaffe eri balubaale ab'ebweru,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ekyo Katonda waffe teyandikizudde? Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyo Katonda talikizuula? Kubanga ebyama byonna eby'omu mutima abimanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
tewandikirabye ekyo Katonda amanya ebikisiddwa mu mutima?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyo Katonda talikikenneenya? Kubanga ebyama eby'omu mutima abimanyi.