Psalms 44:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'omukono gwo wagobawo abaamawanga, bo n'obasimbawo; wabetenta amawanga, bo n'obawa okwegaziya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi, n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola; wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abantu bo tebaawangula nsi olw'ekitala kyabwe, Newakubadde amaanyi gaabwe si ge gabalokola; Wabula omukono gwo ogwa ddyo, n'engalo zo, n'omusana ogw'amaaso go, kubanga wabasanyukira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bajjajjaffe baawangula ensi eyo nga tebalwanyisa bitala. Baawangula olutalo newaakubadde nga tebaali ba maanyi. Gaali maanyi go na buyinza bwo n'okukakasa nti oli nabo, ebyabalaga okwagala kwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tebaalya nsi olw'ekitala kyabwe, Newakubadde omukono gwabwe si gwe gwabalokola: Wabula omukono gwo ogwa ddyo n'engalo zo, n'omusana ogw'amaaso go, Kubanga baalaba ekisa eri ggwe.