Psalms 44:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi tebaagirya na kitala kyabwe, n'omukono gwabwe si gwe gwabawanguza; wabula yali ddyo wo, omukono gwo, n'ekitangaala ky'amaaso go, kubanga wabasanyukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange; awa Yakobo obuwanguzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe oli kabaka wange, era Katonda wange: Owa obulokozi eri Yakobo abantu bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe Kabaka wange era Katonda wange, ayamba abantu ba Yakobo ne bawangula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe oli kabaka wange, ai Katonda: Lagira obulokozi eri Yakobo.