Psalms 45:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwala, wulira, laba era tega okutu kwo: weerabire abantu bo n'ennyumba ya kitaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa n’oyitirira; nga bw’ali mukama wo, muwenga ekitiibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo kabaka anaayagalanga obulungi bwo; Kubanga ye Mukama wo; muvunnamire.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obulungi bwo kabaka alibwagala. Ye mukama wo, mufukaamirirenga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo kabaka anaayagalanga obulungi bwo: Kubanga ye Mukama wo; era omusinze.